Jeremiah 31:31-34

31 aBw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,
lwe ndikola endagaano empya
n’ennyumba ya Isirayiri
era n’ennyumba ya Yuda.
32 bTeribeera ng’endagaano eri
gye nakola ne bajjajjaabwe
bwe nabakwata ku mukono
okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,
kubanga baamenya endagaano yange nabo
wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”
bw’ayogera Mukama.
33 c“Eno y’endagaano gye nnaakola
n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.
“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,
ne ngawandiika ku mitima gyabwe.
Ndibeera Katonda waabwe,
nabo balibeera bantu bange.
34 dOmuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”
Copyright information for LugEEEE